YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 11

11
1 # Mat 7:28; 13:53; 19:1; 26:1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2 # Mat 14:3 Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo n'atuma abayigirizwa be, 3#Mal 3:1, Dan 9:26okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala? 4Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba: 5#Is 35:5,6; 61:1abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b'amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri. 6#Mat 13:57; 26:31Naye yenna alina omukisa atalinneesittalako. 7#Mat 3:1,5Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n'ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye mwagenderera mu ddungu okutunuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? 8Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka. 9#Luk 1:76Naye kiki kye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi. 10#Mal 3:1, Mak 1:2, Yok 3:28Oyo ye yawandiikwako nti
Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go,
Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.
11 # Mat 13:17 Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye. 12#Luk 16:16; 13:24, Yok 6:15Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi. 13Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana. 14#Mal 4:5, Mat 17:10-13Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja. 15Alina amatu ag'okuwulira, awulire. 16Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, 17#Nge 29:9nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba. 18#Mat 3:4Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni. 19#Mat 9:14,15Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.
20 # Luk 19:12-15 N'asookera awo okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya. 21#Yon 3:6Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu. 22Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe. 23#Mat 4:13; 8:5; 9:1, Is 14:13,15Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano. 24#Mat 10:15Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.
25 # 1 Kol 1:26-29 # Luk 10:21,22 Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato: 26weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go. 27#Mat 28:18, Yok 3:35; 17:2, Baf 2:9Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira. 28#Mat 12:20, Yer 31:25Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 29#Yer 6:16Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu mwoyo gyammwe. 30#1 Yok 5:3Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.

Currently Selected:

Matayo 11: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in