1
Matayo 11:28
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
Compare
Explore Matayo 11:28
2
Matayo 11:29
Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu mwoyo gyammwe.
Explore Matayo 11:29
3
Matayo 11:30
Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.
Explore Matayo 11:30
4
Matayo 11:27
Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira.
Explore Matayo 11:27
5
Matayo 11:4-5
Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba: abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b'amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
Explore Matayo 11:4-5
6
Matayo 11:15
Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
Explore Matayo 11:15