Matayo 10
10
1 #
Mak 6:7-13, Luk 9:1-5 N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.
2 #
Mak 3:14-19, Luk 6:13-16, Yok 1:40-49 Abatume abo ekkumi n'ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; 3Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; 4Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. 5Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti
Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; 6#Mat 15:24, Bik 13:46, Yer 50:6naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri. 7#Mat 4:17, Luk 10:9Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka. 8#Bik 20:33Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. 9Temubeeranga na zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; 10#Luk 10:4, 1 Tim 5:18, Kubal 18:31so n'ensawo etambula, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emmere ye. 11Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12#Luk 10:5,6Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga. 13Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli. 14#Luk 10:10-12, Bik 13:51; 18:6Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe. 15#Mat 11:24, Luk 20:47Ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira ekibuga ekyo.
16 #
Luk 10:3, Yok 10:12, Bik 20:29, Bar 16:19, Bef 5:15 Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa. 17#Mat 24:9Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu; 18#Mat 24:14, Bik 25:23; 27:24era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n'ab'amawanga. 19#Luk 12:11,12Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. 20#Yok 14:26, 1 Kol 2:4Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe. 21#Mat 10:35, Mi 7:6Ow'oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n'abaana banaajeemeranga ababazaala, n'okubassa. 22#Mat 24:9,13, Yok 15:21Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka. 23#Mat 4:17, Luk 10:9Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja.
24 #
Luk 6:40, Yok 13:16-20 Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we. 25#Mat 12:24Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye? 26#Mak 4:22, Luk 8:17Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikkibwa, ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa. 27Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba. 28#Yak 4:12So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n'omubiri mu Ggeyeena. 29Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: 30era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna. 31#Mat 12:12Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi. 32Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33#Luk 9:26Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34 #
Luk 12:51-53
Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. 35#Mi 7:6Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; 36abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. 37#Ma 33:9, Luk 14:26,27Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira. 38#Mat 16:24,25N'oyo atakwata musalaba gwe n'agoberera ennyuma wange, tansaanira. 39#Luk 17:33, Yok 12:25Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
40 #
Mat 25:40, Mak 9:41 Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma. 41Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu. 42#Mat 25:40, Mak 9:41Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky'amazzi amannyogovu kyokka mu linnya ly'omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.
Currently Selected:
Matayo 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.