YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 2

2
1Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi zonna okuwandiikibwa. 2Okwo kwe kuwandiikibwa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli. 3Bonna ne bagenda okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabo. 4Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'alinnya e Buyudaaya, okugenda mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi, 5#Luk 1:27yeewandiike ne Malyamu, gwe yali ayogereza, ng'ali lubuto. 6Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka. 7#Mat 1:25N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaalaba bbanga mu kisulo ky'abagenyi.
8Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaatuulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo. 9Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo. 10Malayika n'abagamba nti Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna: 11kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe. 12Kano ke kabonero gye muli; munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. 13#Dan 7:10Awo amangu ago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti
14 # Luk 19:38, Is 57:19, Bef 2:14,17 Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo;
Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.
15Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti Kale tugende e Besirekemu tulabe ekigambo kino ekibaddeyo, Mukama ky'atutegeezezza. 16Ne bajja mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo. 17#Luk 2:10-12Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo. 18Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira. 19#Luk 2:51Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe. 20Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, bye baalaba, nga bwe baabuulirwa.
21 # Luk 1:31,59, Leev 12:3 Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto.
22 # Leev 12:1-8 Awo ennaku bwe zaatuuka ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama 23#Kuv 13:2,12,15(nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama), 24#Leev 5:11; 12:8n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri. 25#Is 40:1; 49:13Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye. 26Oyo yabikkulirwa Omwoyo Omutukuvu nti taliraba kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama. 27N'ajjira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakadde be bwe baayingiza omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka, 28awo ye n'amukwata mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti
29Mukama wange, kaakano osiibula omuddu wo
Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali;
30 # Is 40:5; 52:10 Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,
31Bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna:
32 # Is 42:6; 49:6 Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga
N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.
33Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako; 34awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; 35era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi biryoke bibikkulwe. 36Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yali yaakamala emyaka mingi, yabeera ne bba emyaka musanvu okuva mu buto bwe, 37naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena), ataavanga mu yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana. 38Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. 39Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya, mu kibuga ky'ewaabwe e Nazaaleesi.
40Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye.
41Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako. 42Awo bwe yali yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga: 43awo bwe baatuusa ennaku zaabwe, baali nga baddayo, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, ne bakadde be ne batamanya: 44naye bwe baalowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: 45bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya. 46Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, ng'ababuuza: 47bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. 48Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti Mwana wange, kiki ekitukozezza ggwe bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde. 49#Yok 2:16N'abagamba nti Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange? 50Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba. 51N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.
52 # 1 Sam 2:26, Nge 3:4 Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, ne mu kisa eri Katonda n'eri abantu.

Currently Selected:

Lukka 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy