YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 26

26
1 # Kuv 20:4,5; 23:24, Leev 19:4, Kubal 33:52 Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 2#Leev 19:30Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama.
3 # Ma 11:13-15, Ez 34:25-27 Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola; 4kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. 5#Am 9:13N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe. 6#1 Bassek 4:25, Is 35:9, Yer 30:10, Zef 3:13Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe. 7Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala. 8#Yos 23:10Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala. 9#Lub 17:6,7, 2 Bassek 13:23Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe. 10Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya. 11#Ez 37:26-28, Kub 21:3Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n'obulamu bwange tebuubakyawenga. 12#Kuv 6:7; 29:45, Yer 7:23, Ez 11:20, 2 Kol 6:16Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 13#Leev 25:38, Ez 34:27Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby'ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye.
14 # Ma 28:15-68 Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonna: 15#2 Bassek 17:15era bwe munaagaananga amateeka gange, n'obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolanga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange: 16nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n'omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga. 17#Ma 28:25, Zab 106:41, Nge 28:1 Era naaboolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g'abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba. 18Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibi byammwe. 19#Ma 28:23, Is 25:11Era naamenyanga amalala ag'obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng'ekyuma, n'ettaka lyammwe okuba ng'ekikomo: 20#Is 49:4, Kag 1:10n'amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo. 21Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga. 22#Ma 32:24, Is 33:8, Ez 14:15, Zek 7:14Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey'omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga. 23#Yer 5:3Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 24#Zab 18:26kale nange naatambuliranga mu kuyomba nammwe; era naabakubanga emirundi musanvu, nze mwene, olw'ebibi byammwe. 25#Ma 28:21, Yer 24:10, Ez 14:17,19, Am 4:10Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe. 26#Zab 105:16, Is 9:20, Ez 4:16Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw'omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzaani: era munaalyanga ne mutakutta.
27Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange; 28#Is 66:15kale naatambuliranga mu kuyomba nammwe mu kiruyi; era naababonerezanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 29#Ma 28:53, 2 Bassek 6:29Era munaalyanga ennyama ya batabani bammwe, n'ennyama ya bawala bammwe gye munaalyanga. 30#2 Byom 34:3,4,7, Ez 6:3-5Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe; n'obulamu bwange bunaabakyawanga. 31#Nek 2:3, Zab 74:3,6-8, Yer 6:20; 22:5; 26:6,9Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw'akaloosa kammwe. 32#1 Bassek 9:8, Yer 9:11; 25:11Era naafuulanga ensi ddungu: n'abalabe bammwe abagituulamu banaagyewuunyanga. 33#Ma 4:27; 28:64, Nek 1:8, Yer 9:16, Ez 12:15; 20:23, Zek 7:14Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga. 34#Leev 25:2, 2 Byom 36:21Awo ensi n'eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z'eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y'abalabe bammwe; awo ensi n'eryokanga ewummula n'esanyukira ssabbiiti zaayo. 35Ennaku zonna z'eneezikiranga eneewummulanga; okuwummula okwo kw'etabanga nakwo ku ssabbiiti zammwe nga mukyalimu. 36#Lub 35:5, Leev 26:17, Yos 2:9,11, Ez 21:7N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z'abalabe baabwe: n'eddoboozi ly'akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng'omuntu bw'adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba. 37#Yos 7:12,13, Balam 2:14Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe. 38Era munaazikiriranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga. 39#Ma 28:65, Ez 4:17, Kuv 30:13N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z'abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo. 40#Kubal 5:6,7, 1 Bassek 8:33, Nek 9:2, Nge 28:13Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange, 41#1 Bassek 21:29era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe; 42#Kuv 2:24, Zab 106:45, Ez 16:60awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n'endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n'endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi. 43#Leev 26:34Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange. 44#Ma 4:31, 2 Bassek 13:23Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n'okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe: 45#Leev 22:33, Ez 20:9naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama.
46 # Ma 6:1; 12:1 Ago ge mateeka n'emisango n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n'omukono gwa Musa.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 26: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in