Eby'Abaleevi 25
25
1Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi 2#Kuv 23:10,11nti Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama. 3Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo; 4naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo. 5Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi. 6Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe; 7n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.
8Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda. 9#Leev 23:27, Kubal 10:10Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu; ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna. 10#Leev 27:24, Kubal 36:4Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze. 11#Leev 25:4,5Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire. 12#Leev 25:6,7Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro. 13Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe. 14#Leev 19:13Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba bw'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga: 15#Leev 27:18,23ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga. 16Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza. 17#Leev 19:14So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 18#Leev 26:3,5, Ez 34:27,28Kye munaavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe. 19Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe. 20#Leev 25:4,5Era bwe munaayogeranga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? laba, tetulisiga, so tetulikungula kyengera kyaffe: 21#Kuv 16:29, Ma 28:8kale naalagiranga omukisa gwange okubeera ku mmwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gunaabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatule. 22#Leev 26:10, 2 Bassek 19:29Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda. 23#Ma 32:43, 1 Byom 29:15, 2 Byom 7:20, Zab 39:12; 85:1, Kos 9:3, Yo 2:18; 3:2, Beb 11:13, 1 Peet 2:11So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi. 24Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa.
25 #
Luus 2:20; 3:12,13; 4:3-6 Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze. 26Era omuntu bw'atabangako anaakinunula, era ng'agaggawadde n'alaba ebinaamala okukinunula; 27awo abalenga emyaka gye kyatundirwamu n'addiza ebisukkiriddemu omuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe. 28#Leev 25:13Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe.
29Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula. 30Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri. 31Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri. 32#Kubal 35:2, Yos 21:2Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna. 33Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri. 34#Yos 21:41,42, Bik 4:36,37Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna.
35 #
Ma 15:7,8, Bik 11:29, 1 Yok 3:17 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse. 36#Kuv 22:25, Leev 25:17, Ma 23:19Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe. 37Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira. 38#Leev 22:32,33Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, okuba Katonda wammwe.
39 #
Kuv 21:2, Ma 15:12, 1 Bassek 9:22, 2 Bassek 4:1, Yer 34:14 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga; 40anaabeeranga naawe ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋŋanguse; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: 41#Kuv 21:3, Leev 25:13n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga. 42Kubanga baddu bange, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu. 43#Leev 25:17, Bef 6:9, Bak 4:1Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo. 44N'abaddu bo, n'abazaana bo, b'onoobanga nabo; ku mawanga agabeetoolodde, ku abo kwe munaagulanga abaddu n'abazaana. 45#Is 14:1,2Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu nsi yammwe: nabo banaabanga nvuma zammwe. 46Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi.
47Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse: 48bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa; omu ku baganda be anaayinzanga okumununula: 49#Leev 25:26oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba muntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka. 50Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye. 51Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula. 52Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe. 53Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go. 54#Leev 25:41Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye. 55Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 25: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.