1
Eby'Abaleevi 26:12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.
Compare
Explore Eby'Abaleevi 26:12
2
Eby'Abaleevi 26:4
kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
Explore Eby'Abaleevi 26:4
3
Eby'Abaleevi 26:3
Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola
Explore Eby'Abaleevi 26:3
4
Eby'Abaleevi 26:6
Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe.
Explore Eby'Abaleevi 26:6
5
Eby'Abaleevi 26:9
Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe.
Explore Eby'Abaleevi 26:9
6
Eby'Abaleevi 26:13
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby'ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye.
Explore Eby'Abaleevi 26:13
7
Eby'Abaleevi 26:11
Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n'obulamu bwange tebuubakyawenga.
Explore Eby'Abaleevi 26:11
8
Eby'Abaleevi 26:1
Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
Explore Eby'Abaleevi 26:1
9
Eby'Abaleevi 26:10
Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya.
Explore Eby'Abaleevi 26:10
10
Eby'Abaleevi 26:8
Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
Explore Eby'Abaleevi 26:8
11
Eby'Abaleevi 26:5
N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe.
Explore Eby'Abaleevi 26:5
12
Eby'Abaleevi 26:7
Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
Explore Eby'Abaleevi 26:7
13
Eby'Abaleevi 26:2
Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama.
Explore Eby'Abaleevi 26:2