YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 24

24
1 # Kuv 27:20,21 Mukama n'agamba Musa 2nti Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi aga zeyituuni amakube olw'ettabaaza, okwasanga ettabaaza olutata. 3Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna. 4#Kuv 39:37Ettabaaza anaazirongooserezanga ku kikondo ekirongoofu mu maaso ga Mukama olutata.
5 # Kuv 25:30, Beb 9:2 Era onoddiranga obutta obulungi, n'oggyamu emigaati kkumi n'ebiri emyokye: ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa binaabanga mu mugaati gumu. 6#Kuv 25:23,24; 40:22,23, 1 Bassek 7:48Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama. 7Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 8#1 Byom 9:32, 2 Byom 2:4Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri. 9#Leev 8:31, 1 Sam 21:6, Mak 2:26Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.
10Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri: mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira; 11#Kuv 3:14,15, Kubal 15:33, 1 Bassek 21:13, Mat 26:65, Mak 14:64mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya n'akolima; ne bamuleetera Musa. Ne nnyina erinnya lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani. 12#Kubal 15:34; 27:5,6Ne bamusiba balyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama.
13Mukama n'agamba Musa 14#Ma 17:5,7nti Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja. 15#Leev 5:1, Kubal 9:13Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaakolimiranga Katonda we anaabangako ekibi kye. 16#Yok 10:31-33N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja: omugenyi naye era n'enzaalwa, bw'anavvoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga. 17#Lub 9:6, Kuv 21:12, Kubal 35:31, Ma 19:11,12N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa; 18n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu. 19#Kuv 21:23-25, Ma 19:21, Mat 5:38Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo; 20ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo. 21N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga: n'oyo anattanga omuntu anattibwanga. 22#Kuv 12:49Munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. 23#Leev 24:14Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 24: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Eby'Abaleevi 24