YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 36

36
1Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti
2Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola;
Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
3 # Kub 15:3-4 Naggya wala okumanya kwange,
Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.
4 # Yob 37:16 Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba:
Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.
5 # Yob 8:20; 9:4; 12:13, Zab 138:6 Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma muntu yenna:
Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera.
6 # Yob 34:28 Takuuma bulamu bw'ababi:
Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.
7 # Zab 33:18; 34:15; 113:8 Taggya maaso ge ku batuukirivu:
Naye awali bakabaka ku ntebe
Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.
8 # Zab 107:10 Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba,
Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa;
9 # Yob 15:25 Kale n'abalaga omulimu gwabwe,
N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.
10 # Ma 32:6, Zab 42:8; 77:6; 149:5, Is 51:13, Bik 16:25 Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa,
N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.
11 # Is 28:26 Bwe bawulira ne bamuweereza,
Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa,
N'emyaka gyabwe nga basanyuka.
12 # Yob 27:9 Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala,
Era banaafanga awatali kumanya.
13Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu:
Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.
14 # Zab 55:23 Bafa nga bakyali bato,
N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.
15 # Yob 33:15-28, Zab 119:67,71 Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe,
Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.
16 # Zab 18:19; 23:5; 36:8 Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku
N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa;
N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.
17Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi:
Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.
18 # Yob 33:24 Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga
So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.
19 # Nge 11:4 Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku,
Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go?
20 # Yob 34:20,25; 40:12 Teweegomba kiro,
Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.
21Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu:
Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.
22 # Yob 34:32 Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe:
Ani omuyigiriza afaanana ye?
23 # Yob 34:10, Is 40:13,14, Bar 11:34, 1 Kol 2:16 Ani eyali amulagidde ekkubo lye?
Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?
24 # Zab 92:5; 104:33, Luk 1:46, Kub 15:3 Jjukira okugulumizanga omulimu gwe,
Abantu gwe baayimbangako.
25Abantu bonna baagutunuulira;
Abantu baagulengera nga bayima wala.
26 # Yob 37:5, Zab 90:2; 102:27, 1 Kol 13:12 Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi;
Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka.
27 # Lub 2:6, Zab 147:8 Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi,
Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:
28Eggulu ne liyiwa
Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.
29 # Yob 26:9, Zab 18:11; 105:39 Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa,
Okubwatuuka okw'omu weema ye?
30 # Yob 37:3 Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola;
Era asaanikira ku nnyanja wansi.
31 # Yob 37:13, Zab 104:27,28; 136:25, Bik 14:17 Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga;
Agaba emmere nnyingi nnyo.
32 # Kaab 3:4 Abikka engalo ze n'enjota;
Era aziragira zikube sabbaawa.
33Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye,
Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.

Currently Selected:

Yobu 36: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in