Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro,
Otulo otungi bwe tukwata abantu,
Nga babongoota ku kitanda;
Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu,
N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
Aggye abantu mu kuteesa kwabwe,
Era akweke abantu amalala;
Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya,
N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala.