YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 30

30
1 # Yob 12:4 Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera,
Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.
2 # Yob 24:4-8 Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki?
Abantu abaweddemu obuvubuka,
3Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala;
Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.
4Banoga enkunga awali ebisaka;
N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe.
5Bagobebwa wakati mu bantu;
Babalangira nga bwe balangira omubbi.
6 # 1 Sam 13:6, Yer 4:29 Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu,
Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi
7 # Yob 6:5, Zef 2:9 Balirira mu bisaka,
Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira.
8Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya;
Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.
9 # Yob 17:6, Zab 69:12, Kung 3:14,63 Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe,
Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali.
10 # Is 50:6, Mat 26:67; 27:30 Bantamwa, banneesamba,
Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.
11Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyabonya,
Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange
12 # Yob 19:12 Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu;
Basindiikiriza ebigere byange,
Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira.
13Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye,
Abantu ababulwa ow'okubayamba.
14Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi:
Wakati mu matongo bangwako.
15 # Yob 7:9; 18:11 Ebitiisa bikyuse okungwako,
Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo;
N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire.
16 # 1 Sam 1:15 Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange;
Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte.
17 # Yob 7:3; 33:19 Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze,
N'obubalagaze obunnuma tebuwummula.
18Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese:
Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange.
19 # Lub 18:27, Yob 42:6 Ansudde mu bitosi,
Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu.
20Nkukaabira so tonziramu:
Nnyimirira, n'ontunuulira.
21 # Yob 16:9 Okyuse okuba omukambwe gye ndi:
Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya.
22 # Yob 27:21 Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako;
Era onsaanuusizza mu kibuyaga.
23Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa,
N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna.
24 # Mi 1:6; 3:12 Mazima taagololere mukono gwe ku kifunvu ky'ebyagwa;
Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo.
25 # Zab 35:13,14, Bar 12:15 Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku?
Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga?
26 # Yer 8:15; 14:19 Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja;
Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja.
27Ebyenda byange byesera ne bitawummula;
Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.
28 # Zab 38:6 Ntambula nga mpuubaala awatali njuba:
Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.
29 # Is 13:21, Mi 1:8 Ndi muganda w'ebibe,
Ne bamaaya ndi munnaabwe.
30 # Zab 102:3; 119:83, Kung 4:8; 5:10 Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako,
N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu.
31 # Kung 5:15 Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala,
N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga.

Currently Selected:

Yobu 30: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in