YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 31

31
1 # Is 33:15, Mat 5:28 Nalagaana endagaano n'amaaso gange;
Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?
2 # Yob 20:29 Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki,
N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu?
3Si buyinike eri atali mutuukirivu,
N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu?
4 # 2 Byom 16:9, Yob 14:16; 34:21, Nge 15:3, Yer 32:19 Talaba makubo gange,
N'abala ebigere byange byonna?
5Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu,
Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa;
6(Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana,
Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;)#Dan 5:27
7 # Kubal 15:39, Yob 11:15, Mub 11:9 Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo,
N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange,
Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange:
8 # Leev 26:16, Ma 28:30 Kale nze nsige, omulala alye;
Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe.
9 # Yob 24:15 Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi,
Ne nteegera ku mulyango gwa munnange:
10 # 2 Sam 12:11, Is 47:2 Kale mukazi wange aseere omulala,
Era abalala bakutame ku ye.
11 # Leev 20:10 Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve;
Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza:
12 # Nge 6:27-29 Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza,
Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna.
13Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange,
Bwe bampawaabira:
14 # Zab 17:3 Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka?
Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya?
15 # Yob 34:19, Nge 22:2, Bef 6:9 Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye?
Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?
16 # Yob 22:7 Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba,
Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu;
17Oba nali ndidde akamere kange nzekka;
So atalina kitaawe taliddeeko
18(Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe,
Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;)
19 # Yob 24:7,10 Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo,
Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka:
20 # Ma 24:13 Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza,
Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange;
21 # Yob 22:9 Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe,
Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango:
22Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa,
N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba.
23Kubanga obuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi,
Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola.
24 # Yob 4:6, Mak 10:24 Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange,
Era oba nga nali ŋŋambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange;
25 # Ma 8:17, Zab 62:10 Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi,
Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi;
26 # Ma 4:19; 17:3, Ez 8:16 Oba nga nali ntunuulidde enjuba,
Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa;
27Omutima gwange ne gusendebwa kyama,
Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange:
28 # Yos 24:27 Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza:
Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu.
29 # Nge 17:5 Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde,
Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba;
30(Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona
Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;)#Mat 5:44, Bar 12:14
31 # 1 Sam 25:11 Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti
Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye?
32 # Lub 19:2,3, Balam 19:20,21, Mat 25:35, Beb 13:2 Omugenyi teyasulanga mu luguudo;
Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze;
33 # Lub 3:8,12, Nge 28:13 Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu,
Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange;
34 # Kuv 23:2 Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene,
N'okunyoomebwa ebika ne ku nkanga,
N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango
35 # Yob 13:22; 19:23 Singa wabaddewo anampulira!
(Laba, kano ke kabonero kange, Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;)
Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise!
36Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange;
Nandikyesibye nga kiremba.
37Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo;
Nandimusemberedde ng'omukungu.
38Ensi yange bw'enempawaabira,
N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga;
39 # Lub 4:12, 1 Bassek 21:16,19, 2 Tim 2:6, Yak 5:4 Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza,
Oba nali nfiisizza bannyini yo:
40 # Lub 3:18 Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano,
Ne ssere mu kifo kya sayiri.
Ebigambo bya Yobu biwedde.

Currently Selected:

Yobu 31: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in