YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 26

26
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Atalina buyinza ng'omubedde so!
Omukono ogutalina maanyi ng'ogulokodde so!
3Atalina magezi ng'omuweeredde so,
N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi!
4Ani gw'obuulidde ebigambo?
N'omwoyo gwani oguvudde mu ggwe?
5 # Zab 88:10 Abaafa bakankana
Wansi w'amazzi n'ababeera omwo.
6 # Yob 28:22; 31:12, Zab 139:8, Nge 15:11, Is 14:9, Kub 9:11 Amagombe gali bwereere mu maaso ge,
N'okuzikirira tekulina kye kwebikka.
7 # Lub 1:2, Yob 9:8 Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere,
Era awanika ensi awatali kintu.
8 # Nge 30:4 Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu;
Ekire ne kitayulika wansi we.
9 # Yob 36:29 Aziba obwenyi bw'entebe ye,
N'agyaliirako ekire kye.
10 # Yob 38:8-11, Nge 8:29, Yer 5:22 Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi,
Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma.
11 # Yob 9:6, Zab 75:3; 104:7 Empagi ez'eggulu zikankana
Ne zeewuunya olw'okunenya kwe.
12 # Yob 9:13, Is 51:15, Yer 31:35 Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe,
Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe.
13 # Is 27:1, Yob 15:20; 20:29 Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe;
Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 # Yob 4:12; 40:19 Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge:
N'akagambo ke tumuwulirako nga katono!
Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?

Currently Selected:

Yobu 26: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in