YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 22

22
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2 # Yob 35:7 Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.
3 # Zab 18:32 Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu?
Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?
4 # Yob 14:3 Kubanga omutya kyava akunenya,
Kyava asala omusango gwo?
5Obubi bwo si bungi?
So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.
6 # Kuv 22:26, Yob 24:3,9, Ez 18:12,16 Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere,
N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.
7 # Is 58:7, Mat 25:42 Tonywesanga mazzi omukoowu,
Era wamma omuyala emmere.
8Naye ow'amaanyi ye yalya ensi;
N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu.
9 # Yob 31:21, Is 10:2 Wasindika bannamwandu nga tebalina kintu,
N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.
10 # Yob 18:8-11 Obukunizo kyebuva bukwetooloola,
N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza,
11 # Yob 27:20, Zab 69:1, Kung 3:54, Yon 3:3,5 Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba,
Amazzi amangi ne gakubikkako.
12 # Yob 11:8 Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa?
Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!
13 # Zab 59:7, Is 29:15, Ez 8:12 Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki?
Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte?
14 # Zab 139:11,12 Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba;
Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu.
15Oyagala okukwata ekkubo ery'edda
Abantu ababi bye baalinnyirangamu?
16Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo,
Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga:
17 # Yob 21:14, Zab 4:6 Abaagambanga Katonda nti Tuveeko:
Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki?
18 # Yob 21:16 Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi:
Naye okuteesa kw'ababi kundi wala.
19 # Zab 2:4; 52:6; 58:10 Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka;
N'ataliiko musango abasekerera nnyo:
20Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo,
N'abo abafisseewo omuliro gubookezza.
21 # Nge 3:2 Yiga nno obeere n'emirembe:
Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi.
22 # Zab 119:11, Nge 2:6 Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke,
Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.
23 # Yob 8:5,6; 11:13,14, Yer 24:6, Mal 3:7 Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga;
Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo.
24 # 1 Bassek 9:28 N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu,
Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga;
25Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo,
Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.
26 # Yob 11:15, Zab 37:4, Is 58:14 Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna,
Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.
27 # Yob 33:26, Zab 50:14,15, Is 58:9 Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga;
Era onoosasulanga obweyamo bwo.
28 # Nge 4:18 Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli;
N'omusana gunaayakiranga amakubo go.
29 # Zab 138:6, Nge 3:34, Mat 23:12, Yak 4:6, 1 Peet 5:5 Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa;
Era anaalokolanga eyeetoowaza. 30#Lub 18:26, Zab 18:20; 24:4; 26:6Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango:
Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo.

Currently Selected:

Yobu 22: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in