YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 21

21
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 # Yob 13:17 Muwulire nnyo okwogera kwange;
Era bino bibeere bya kubasanyusa.
3 # Yob 16:10,20; 17:2 Munzikirize, nange naayogera;
Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula.
4 # Kuv 6:9, Yob 10:1; 23:2 Nze nemulugunya eri abantu?
Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki?
5 # Balam 18:19, Yob 29:9 Munziseeko omwoyo, mwewuunye,
Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe.
6Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira,
Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange.
7 # Yob 12:6, Zab 73:3; 92:7, Mub 8:14, Yer 12:1,2, Kaab 1:13,16, Mal 3:14,15 Ababi babeerera ki abalamu,
Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza?
8 # Yob 5:25 Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba,
N'enda yaabwe mu maaso gaabwe.
9 # Yob 9:34 Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya,
So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako,
10 # Kuv 23:26 Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira;
Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo.
11 # Zab 17:14 Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo,
N'abaana baabwe bazina.
12 # Kuv 15:20, Is 5:12, Yob 30:31 Bayimbira ku bitaasa n'ennanga,
Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere.
13 # Yos 24:19, Yob 34:20; 36:11, Zab 16:10 Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa,
Mu kaseera ne bakka mu magombe.
14 # Yob 22:17 Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko;
Kubanga tetwegomba kumanya makubo go.
15 # Kuv 5:2, Yob 34:9 Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze?
Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya?
16 # Yob 22:18, Zab 1:1 Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe:
Okuteesa kw'ababi kundi wala.
17 # Yob 18:5,6 Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka?
N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka?
Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka?
18 # Zab 1:4; 83:13, Is 17:13 Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo,
Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka?
19 # Kuv 20:5, Ez 25:14, Kos 9:7 Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe.
Abasasule ye yennyini abumanye.
20 # Zab 75:8, Is 51:17, Yer 25:15, Kub 14:10 Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye,
Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna.
21Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira,
Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati?
22 # Yob 4:18, Is 40:14, Bar 11:34, 1 Kol 2:16 Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya?
Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa.
23Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna,
Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde:
24Amabeere ge gajjudde amata,
N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi.
25 # Yob 7:11 N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala,
So taleganga ku birungi.
26 # Yob 20:11, Mub 9:2, Is 14:11 Bombi bagalamira mu nfuufu,
Envunyu n'ebabikkako.
27Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe,
N'enkwe ze munsalira obubi.
28 # Yob 8:22; 20:6,7 Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa?
Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa?
29Temwababuuza abatambulira mu kkubo?
Era temumanyi bubonero bwabwe?
30 # Nge 16:4, 2 Peet 2:9 Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku?
Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu?
31Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge?
Era ani anaamusasulanga bye yakola?
32Naye anaatwalibwanga mu ntaana,
Era anaakuumanga amalaalo.
33 # Yob 30:23, Beb 9:27 Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga,
N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we,
Nga bwe baamukulembera abatabalika.
34Kale nno munsanyusiza mutya obwereere,
Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa?

Currently Selected:

Yobu 21: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in