Yobu 20
20
1Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2Ebirowoozo byange kyebiva binziramu,
Olw'okwanguyiriza okuli mu nze.
3Mpulidde okunenya okunswaza,
Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu.
4 #
Ma 4:32
Ekyo tokimanyi obw'edda,
Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,
5 #
Zab 37:35
Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu,
Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?
6 #
Is 14:13,14, Ob 3,4 Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu,
N'omutwe gwe gutuuka mu bire;
7 #
1 Bassek 14:10, Yob 14:10, Zab 83:10 Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye:
Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?
8 #
Zab 73:20; 90:5, Is 29:7 Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga:
Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro.
9 #
Yob 7:8,10 Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate;
So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate.
10Abaana be baneegonzanga eri abaavu,
N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe.
11 #
Yob 21:26
Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe,
Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 #
Zab 10:7
Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke,
Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe;
13Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta,
Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke;
14 #
Ma 32:33
Naye emmere ye mu byenda bye efuuse,
Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye.
15Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate:
Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
16 #
Nge 23:32
Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa:
Olulimi lw'omusota lunaamuttanga.
17 #
Ma 32:13,14, Yob 29:6, Zab 36:8 Taatunuulirenga migga,
Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo.
18Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga;
So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye.
19Kubanga yajooga abaavu n'abaleka;
Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga.
20 #
Nge 17:1, Mub 5:13,14, Is 59:8 Kubanga teyamanya kutereera munda ye,
Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira.
21Tewasigala kintu ky'atalya;
Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera.
22Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku:
Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako.
23 #
Kubal 11:33
Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe,
Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi,
Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya.
24 #
2 Sam 22:35, Am 5:19 Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma,
N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga.
25 #
Yob 18:11
Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe:
Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe;
Ebitiisa bimuliko.
26 #
Yob 15:34, Zab 21:9 Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga:
Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga;
Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.
27Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe,
N'ensi eneemugolokokerangako.
28Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo,
Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe.
29 #
Yob 27:13
Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda,
N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo.
Currently Selected:
Yobu 20: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.