Yobu 19
19
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange,
Ne mummenyamenya n'ebigambo?
3 #
Lub 31:7
Mwakanvumira emirundi kkumi:
Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4N'okukyama newakubadde nga nkyamye,
Okukyama kwange kubeera nange mwene.
5 #
Zab 35:26
Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze,
Ne mundeetako ekivume kyange:
6 #
Yob 8:3; 34:12, Kung 3:36 Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange,
Era anzingizizza n'ekitimba kye.
7 #
Kaab 1:2
Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa:
Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8 #
Yob 3:23, Kung 3:7,9, Kos 2:6 Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu,
Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
9 #
Zab 89:39, Kung 5:16 Anziyeeko ekitiibwa kyange,
Era aggye engule ku mutwe gwange.
10Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze:
N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11 #
Yob 13:24
Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze,
Era ampita omu ku balabe be gy'ali.
12 #
Yob 10:17; 30:12 Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze,
Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
13 #
Zab 69:8; 88:8 Baganda bange abantadde wala,
N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi. 14#Zab 38:11; 55:13Ab'ekika kyange baweddewo,
Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
15 #
Lub 17:27
Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi:
Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16Mpita omuddu wange n'atanjitaba,
Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange.
17Omukka gwange mukazi wange tagumanyi,
N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi.
18 #
2 Bassek 2:23
Era n'abaana abato bannyooma;
Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
19 #
Zab 41:9; 55:13 Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa:
N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
20 #
Zab 102:5, Kung 4:8 Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange,
Era mponye n'eddiba ly'okumannyo gange.
21 #
Is 53:4
Munsaasire, munsaasire, ai mmwe mikwano gyange;
Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
22 #
Zab 69:26
Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda,
So n'omubiri gwange tegubamala?
23 #
Yob 31:35
Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa!
Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24 #
Yer 17:1
Singa byoleddwa ku lwazi
N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna!
25 #
Zab 19:14; 103:4, Is 43:14 Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu,
Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi:
26 #
Zab 17:15, 1 Kol 13:12, 1 Yok 3:2 Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo,
Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
27 #
Zab 73:26
Gwe ndiraba nze mwene,
N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala.
Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so!
Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze;
29 #
Zab 58:11, Mub 12:14 Mutyenga ekitala:
Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala,
Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.
Currently Selected:
Yobu 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.