Yobu 18
18
1Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 #
Mak 12:13
Mulituusa wa okuteega ebigambo?
Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera.
3 #
Zab 73:22
Ekituyisa ensolo kiki,
Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go?
4 #
Yob 14:18; 16:9 Ggwe eyeetaagula olw'obusungu bwo,
Ensi erirekebwa ku lulwo?
Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo?
5 #
Yob 21:17, Zab 18:28, Nge 13:9 Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga,
So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga.
6Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye,
N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga.
7 #
Yob 5:13
Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga,
N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga.
8 #
Zab 9:15; 140:5 Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba,
Era atambulira ku mutego.
9Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro,
N'akakunizo kinaamunywezanga.
10Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka,
N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo.
11 #
Yob 20:25, Yer 6:25 Entiisa eneemukanga enjuyi zonna,
Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye.
12 #
Zab 38:17
Amaanyi ge ganaalumwanga enjala,
N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera.
13Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe,
Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye.
14 #
Kub 9:11
Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga;
Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa.
15 #
Zab 11:6, Ez 38:22 Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye:
Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga,
16 #
Yob 14:2, Kos 9:16, Mal 4:1 Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi,
Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo.
17 #
Yob 30:8, Zab 34:16; 109:13,15 Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi,
So taabenga na linnya mu luguudo.
18 #
Yob 10:21,22 Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana,
Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi.
19 #
Is 14:22
Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be,
Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.
20 #
1 Sam 26:10, Yob 21:6, Yer 50:27 Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe,
Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa.
21 #
Balam 2:10, Yer 9:3, 2 Bas 1:8 Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo,
Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda.
Currently Selected:
Yobu 18: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.