YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 17

17
1 # Zab 88:3,4 Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde,
Entaana enneeteekeddeteekedde.
2Mazima waliwo abakudaazi gye ndi,
N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe.
3 # Zab 119:122, Nge 6:1, Is 38:14, Beb 7:22 Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka;
Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono?
4Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera:
Kyonoovanga olema okubagulumiza.
5 # Yob 11:20 Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo,
Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo.
6 # Ma 28:37, Yob 30:9,10 Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu;
Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu.
7 # Yob 14:2, Zab 6:7 Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala,
N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo,
N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atatya Katonda.
9 # Yob 22:30 Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye,
N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi.
10Naye mukomeewo mwenna, mujje nno:
So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe.
11Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa,
Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12 # Yob 11:17 Bafuusa ekiro okuba omusana:
Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo.
13Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange:
Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza;
14Oba nga ŋŋambye okuvunda nti Ggwe kitange;
N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze;
15Kale essuubi lyange liri ludda wa?
N'essuubi lyange aliriraba ani?
16 # Yob 3:17-19; 21:26 Lirikka mu bisiba eby'amagombe,
Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu.

Currently Selected:

Yobu 17: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in