Yobu 16
16
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 #
Yob 13:4
Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo:
Mwenna muli basanyusa abatagasa.
3 #
Yob 15:2
Ebigambo ebitaliimu binaakoma?
Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?
4 #
2 Bassek 19:21, Zab 22:7, Yer 18:16, Mat 27:39 Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera;
Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange,
Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya,
N'okubanyeenyereza omutwe gwange.
5Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange,
N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe.
6Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana:
Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya?
7Naye kaakano ankooyezza:
N'ekibiina kyange kyonna okizisizza.
8 #
Luus 1:21, Yob 10:17, Zab 109:24 Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi:
N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.
9 #
Yob 18:4; 30:21, Zab 35:16, Kung 2:16, Kos 6:1, Bik 7:54 Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza;
Era annumidde obujugu:
Omulabe wange ankanulira amaaso.
10 #
1 Bassek 22:24, Zab 3:7; 22:13; 35:15, Kung 3:30, Bik 23:2 Banjasamidde akamwa kaabwe;
Bankubye empi nga banswaza:
Bankuŋŋaanirako.
11Katonda angabula eri atatya Katonda,
Era ansuula mu mikono gy'ababi.
12 #
Yob 7:20
Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati;
Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya:
Era ansimbye okuba sabbaawa ye.
13 #
Yob 6:4; 27:22, Kung 2:11 Abalasi be banzingizza enjuyi zonna,
Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa;
Afuka omususa gwange ku ttaka.
14Agenda yeeyongera okummenyamenya;
Anfubutukirako ng'omuzira.
15 #
Zab 7:5; 75:10 Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange,
Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu.
16Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga,
Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa;
17 #
Is 53:9
Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange,
N'okusaba kwange kulongoofu.
18 #
Lub 4:10, Is 26:21 Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange,
N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira.
19 #
Zab 89:37, Bar 1:9 Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu,
N'omuyima wange ali waggulu.
20 #
Yob 12:5
Mikwano gyange bannyooma:
Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda;
21Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda,
N'ey'omwana w'omuntu eri munne.
22 #
Yob 10:21
Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako,
Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo.
Currently Selected:
Yobu 16: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.