YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 13

13
1Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
2 # Yob 15:9 Bye mumanyi era nange mbimanyi:
Mmwe temunsinga.
3 # Yob 13:15; 23:4 Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna,
Era njagala okuteesa ne Katonda.
4 # Zab 119:69 Naye mmwe mugunja eby'obulimba,
Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
5 # Nge 17:28 Singa musirikidde ddala!
Lwe mwandibadde n'amagezi.
6Muwulire nno ensonga yange,
Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange.
7Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya nsonga,
Era nga muleeta eby'obulimba?
8 # Balam 6:31 Munaamutya kitiibwa?
Munaayomberera Katonda?
9 # Bag 6:7 Kirungi ye okubakebera?
Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye?
10Talirema kubanenya,
Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
11 # Yob 31:23 Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa,
N'entiisa ye teribagwako?
12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13Musirike mundeke njogere,
Ebinaayagala okujja binjijire.
14 # Balam 12:3 Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange,
Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
15 # Yob 13:3; 14:14, Nge 14:32 Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga:
Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange;
Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
17 # Yob 21:2 Muwulire nnyo ebigambo byange,
N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
18 # Yob 23:4 Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange;
Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
19 # Is 50:8 Ani anaawakana nange?
Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
20 # Lub 3:8 Kyokka tonkola bigambo bibiri,
Kale ne sseekweka amaaso go:
21 # Yob 9:34 Nziyaako omukono gwo gumbeere wala;
So n'entiisa yo ereme okunkanga.
22 # Yob 14:15 Kale koowoola ggwe nange naayitaba;
Oba leka njogere naawe onziremu.
23Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi?
Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24 # Ma 31:17, Yob 19:11; 33:10, Zab 44:24; 88:14 Okisiza ki amaaso go,
N'ompita omulabe wo?
25Onoococca essubi eritwalibwa empewo?
Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
26 # Zab 25:7 Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo,
Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange:
27 # Yob 10:14; 33:11 N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna;
Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo,
Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.

Currently Selected:

Yobu 13: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in