Yobu 12
12
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini,
Era amagezi galifiira wamu nammwe.
3 #
Yob 13:2; 15:9 Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka;
Mmwe temunsinga:
Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo?
4 #
Yob 30:1, Zab 91:15 Ninga omuntu asekererwa eri munne,
Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu:
Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi;
Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe.
6 #
Yob 21:7
Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa,
N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe;
Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza;
N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira:
8Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza;
N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 #
Yob 1:21, Is 41:20 Ani atamanyi mu ebyo byonna,
Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
10 #
Dan 5:23, Bik 17:28 Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo,
N'omukka gw'abantu bonna.
11 #
Yob 34:3
Okutu tekukema bigambo,
Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?
12 #
Yob 32:7, Zab 119:100 Amagezi gaba n'abasajja abakadde,
N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
13 #
Yob 9:4; 36:5 Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi;
Yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera.
14 #
Yob 11:10, Is 22:22, Kub 3:7 Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate;
Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
15 #
Lub 7:11-24, Ma 11:17, 1 Bassek 8:35, Am 9:6 Laba, aziyiza amazzi ne gakala;
Nate agasindika ne gavuunika ensi.
16 #
Yob 5:12
Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala;
Alimbibwa n'alimba babe.
17 #
2 Sam 17:23, Yob 9:24, Is 40:23, 1 Kol 1:19 Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa,
N'abalamuzi abafuula abasirusiru.
18Asumulula olujegere lwa bakabaka,
Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba.
19Atwala bakabona nga banyagiddwa,
Era amegga ab'amaanyi.
20Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe,
N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
21 #
Zab 107:40
Afuka okunyoomebwa ku balangira,
Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi.
22 #
Dan 2:22, 1 Kol 4:5 Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza,
Era ayerula ekisiikirize eky'okufa.
23 #
2 Bassek 18:11, Is 9:3; 26:15 Ayaza amawanga, era agazikiriza:
Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
24 #
Yob 6:18, Zab 107:40 Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo,
Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
25 #
Yob 5:14, Zab 107:27, Is 19:14 Bawammantira mu kizikiza awatali musana,
Era abatagassa ng'omutamiivu.
Currently Selected:
Yobu 12: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.