Yobu 10
10
1 #
Kubal 11:15, 1 Bassek 19:4, Yob 7:11,16; 21:4 Emmeeme yange enyiye obulamu bwange;
Naafukumula okwemulugunya kwange;
Naayogeza kkabyo lya mmeeme yange.
2 #
Yob 9:3,29 Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga;
Ntegeeza kyova owakana nange.
3 #
Zab 138:8, Is 64:8 Okiyita kirungi ggwe okujooga,
Okunyooma omulimu gw'engalo zo,
N'oyakira okuteesa kw'ababi?
4 #
1 Sam 16:17, Yok 8:15 Olina amaaso ag'omubiri,
Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba?
5 #
Yob 36:26, Zab 77:10; 90:4, 2 Peet 3:8 Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu,
Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu,
6 #
Yob 14:16
N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange,
N'onoonya okwonoona kwange,
7 #
Ma 32:39, Yob 2:3,9, Is 43:13 Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi;
So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?
8 #
Zab 119:73
Emikono gyo gye gyannumba, gye gyankola
Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza.
9 #
Lub 3:19, Yob 34:15, Mub 12:7 Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka;
Era olinziza nate mu nfuufu?
10Tonzituludde ng'amata,
N'onkwasa ng'amata amakalu?
11Wannyambaza eddiba n'omubiri,
Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa.
12Wampa obulamu n'okuganja,
N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.
13 #
Yob 23:14; 27:11 Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo;
Mmanyi ng'ekyo kiri naawe:
14 #
Yob 9:28; 13:27, Zab 130:3 Bwe nnyonoona, kale oneetegereza,
So tolinziyako butali butuukirivu bwange.
15 #
Yob 9:15, Is 3:11 Bwe mba omubi, nga zinsanze;
Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange;
Nga nswazibwa nnyo
Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.
16 #
Is 38:13, Kos 5:14; 13:7 Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma:
Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi.
17 #
Yob 16:8; 19:12 Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze,
N'onnyongerako okunyiiga kwo;
Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.
18 #
Yob 3:11
Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto?
Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye.
19 #
Ob 16
Nandibadde ng'atabangawo;
Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.
20 #
Yob 7:16; 9:27; 14:1 Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo,
Ondeke nsanyusibweko katono,
21 #
Yob 3:5; 16:22, Zab 39:13; 88:12 Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo,
Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa;
22Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri;
Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka,
Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza.
Currently Selected:
Yobu 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.