YouVersion Logo
Search Icon

Yobu 9

9
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 # Yob 4:17, Zab 143:2 Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo:
Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
3 # Yob 10:2 Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye,
Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.
4 # Kuv 7:13; 32:9, Yob 12:13 Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:
Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?
5Ajjulula ensozi ne zitamanya,
Bw'azivuunisa obusungu bwe.
6 # Yob 26:11, Zab 75:3, Is 2:19; 13:13, Kag 2:6,21 Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo,
Empagi zaayo ne zikankana.
7Alagira enjuba n'etevaayo;
Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.
8 # Lub 1:6, Yob 26:7, Zab 104:2, Is 40:22, Yer 10:22 Abamba eggulu yekka,
Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.
9 # Yob 37:9; 38:31,32, Am 5:8 Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga,
N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.
10Akola ebikulu ebitanoonyezeka;
Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.
11 # Yob 23:8,9 Laba, ampitako, ne ssimulaba:
Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.
12 # Yob 11:10; 23:13, Is 45:9, Yer 18:6, Bar 9:20 Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza?
Ani anaamugamba nti Okola ki?
13 # Yob 26:12, Zab 89:10, Is 30:7 Katonda taggyengawo busungu bwe;
Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.
14Nze sirisinga nnyo obutamuddamu,
Ne nneeroboza ebigambo byange mpakane naye?
15 # Yob 10:15 Gwe sandizzeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu;
Nandyegayiridde omulabe wange.
16Singa nkoowodde naye ng'ajitabye;
Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.
17 # Yob 34:6 Kubanga ammenya ne kibuyaga,
Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere.
18Taŋŋanyenga kussa mukka,
Naye anjijuza obubalagaze.
19 # Yer 49:19 Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali!
Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera?
20 # Yob 15:6 Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga:
Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu.
21 # Yob 1:1; 7:16; 10:1 Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka;
Nnyooma obulamu bwange.
22 # Mub 9:2,3, Ez 21:3 Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti
Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.
23Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago,
Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.
24 # Yob 12:17 Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi:
Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo;
Oba nga si ye, kale ye ani?
25 # 2 Byom 30:6, Yob 7:6, Yer 51:31 Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka:
Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.
26 # Is 18:2, Kaab 1:8, Ma 32:39 Ziyise ng'amaato agatambula embiro:
Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27 # Yob 7:13; 10:20 Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange,
Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:
28 # Yob 10:14, Zab 119:120 Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna,
Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.
29Omusango gulinsinga;
Kale kiki ekinteganyisa obwereere?
30 # Yob 22:30, Is 1:25, Yer 2:22 Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira,
Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;
31Era naye olinsuula mu lusalosalo,
N'engoye zange nze zirintamwa.
32Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu,
Ffe okulabagana okuwoza omusango.
33 # 1 Sam 2:25, Yob 9:19 Tewali mulamuzi ali wakati waffe,
Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe ffembi.
34 # Yob 13:21; 21:9; 33:7, Zab 39:10; 89:32 Anziyeeko omuggo gwe,
So entiisa ye ereme okunkanga:
35Kale bwe nnandyogedde ne simutya:
Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.

Currently Selected:

Yobu 9: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in