YouVersion Logo
Search Icon

Ekyabalamuzi 14

14
1 # Yos 15:10; 19:43 Samusooni n'aserengeta Etimuna, n'alaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti. 2#Lub 34:4N'ayambuka okuvaayo, n'abuulira kitaawe ne nnyina n'agamba nti Nalaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti: kale nno mumpasize oyo. 3#Lub 24:3,4; 28:1,2, 1 Sam 17:26,36, 2 Sam 1:20Awo kitaawe ne nnyina ne balyoka bamugamba nti Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi ku Bafirisuuti abatali bakomole? Samusooni n'agamba kitaawe nti Mpasiza oyo; kubanga mmusiima nnyo. 4#Yos 11:20, Balam 13:1; 15:11Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga kyava eri Mukama; kubanga yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti baali bafuga Isiraeri.
5Awo Samusooni n'alyoka aserengeta e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, ne batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna: era, laba empologoma envubuka n'emuwulugumirako. 6#Balam 3:10; 14:19; 15:14, 1 Sam 11:6; 17:34,35, 2 Sam 23:20Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga talina kintu mu ngalo ze: naye n'atabuulira kitaawe newakubadde nnyina ky'akoze. 7N'aserengeta n'anyumya n'omukazi, Samusooni n'amusiima nnyo. 8Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumutwala, n'akyama okulaba omulambo gw'empologoma: era, laba, enjuki nga ziri mu mulambo gw'empologoma n'omubisi gw'enjuki. 9N'agutwala n'engalo ze, n'agenda, ng'alya atambula, n'ajjira kitaawe ne nnyina, n'abawaako, ne balya: naye n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma. 10Kitaawe n'aserengeta eri omukazi: Samusooni n'afumbayo embaga; kubanga bwe baayisanga okukola bwe batyo. 11Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu okubeera naye. 12#2 Bassek 5:5, Ez 17:2Samusooni n'abagamba nti Kaakano ka mbakokkolere ekikokko: bwe muliyinza okukinzivuunula ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaawo, ne mukitegeera, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu: 13naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu. Ne bamugamba nti Kokkola ekikokko kyo tukiwulire. 14N'abagamba nti
Mu mmuli mwavaamu emmere,
Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu.
Ennaku ssatu ne ziyitawo ne balemwa okuvvuunula ekikokko. 15#Balam 15:6; 16:5Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne bagamba mukazi wa Samusooni nti Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo: mwatuyita okutwavuwaza? si bwe kiri? 16#Balam 16:15Mukazi wa Samusooni n'akaaba amaziga mu maaso ge n'agamba nti Onkyawa bukyayi, so tonjagala: wakokkolera ekikokko abaana b'abantu bange n'otokimbuulirako nze. N'amugamba nti Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaakibuulirako? 17#Balam 16:16N'akaabira amaziga mu maaso ge ennaku musanvu embaga ng'ekyaliwo: awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira kubanga yamutayirira nnyo: n'abuulira abaana b'abantu be ekikokko kye yakokkola. 18Abasajja ab'omu kibuga ne bamugamba ku lunaku olw'omusanvu enjuba nga tennagwa nti Ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? era ekisinga empologoma amaanyi kiki? N'agamba nti
Singa temwalimya nte yange,
Temwandivvuunudde kikokko kyange.
19 # Balam 1:18; 14:6 Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukulooni, n'abattamu abasajja asatu, n'anyaga omunyago gwabwe, n'abawa emiteeko (gy'engoye) abo abavvuunula ekikokko. Obusungu bwe ne bubuubuuka, n'ayambuka eri ennyumba ya kitaawe. 20#Yok 3:29Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne, gwe yabanga naye nga ba mukwano.

Currently Selected:

Ekyabalamuzi 14: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in