Ekyabalamuzi 13
13
1 #
Yos 13:2,3, Balam 2:11; 10:7, 1 Sam 12:9 Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; Mukama n'abagabulira mu mukono gw'Abafirisuuti emyaka ana.
2 #
Lub 11:30, Yos 19:41, 1 Sam 1:2, Luk 1:7 Era waaliwo omusajja ow'e Zola, ow'ekika eky'Abadaani, erinnya lye Manowa; ne mukazi we yali mugumba n'atazaala. 3#Balam 6:12, Luk 1:11,13Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti Laba nno, oli mugumba so tozaala: naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi. 4#Kubal 6:1-5, Balam 13:14; 16:17, 1 Sam 1:11; 7:13, Luk 1:15Kale nno weekuume, nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu: 5kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti. 6Awo omukazi n'alyoka ajja abuulira bba, ng'ayogera nti Omusajja wa Katonda azze gye ndi, n'amaaso ge gabadde ng'amaaso ga malayika oyo owa Katonda, ag'entiisa ennyingi; so simubuuzizza gy'avudde, so n'atambuulira linnya lye: 7naye n'aŋŋamba nti Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; ne kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku olw'okufa kwe. 8Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw'okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa. 9Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda n'ajjira omukazi olw'okubiri bwe yali atudde mu nnimiro: naye Manowa bba teyali naye. 10Omukazi n'ayanguwa n'adduka n'abuulira bba n'amugamba nti Laba, omusajja andabikidde eyanjijira olulala. 11Manowa n'agolokoka n'agoberera mukazi we, n'ajja eri omusajja n'amugamba nti Ggwe oli omusajja eyayogera n'omukazi? N'agamba nti Nze wuuno. 12#Luk 1:66Manowa n'agamba nti Kale nno ebigambo byo bituukirire: omwana alifaanana atya, n'omulimu gwe (guliba ki)? 13Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Byonna bye nnabuulira omukazi abyekuumenga. 14#Balam 13:4,7Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatenga. 15#Lub 18:5-8, Balam 6:19Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Nkwegayirira, tukulwiseewo, tukuteekereteekere omwana gw'embuzi. 16Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi nga ye malayika wa Mukama. 17#Balam 13:6Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukuwe ekitiibwa? 18#Lub 32:29, Is 9:6, Kub 19:12Malayika wa Mukama n'amugamba nti Obuuliza ki erinnya lyange, kubanga lya kitalo? 19#Balam 6:19-21Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama: ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira. 20#Leev 9:24, 1 Byom 21:16, Ez 1:28, Mat 17:6, Kub 1:17Kubanga olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu ggulu, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogw'oku kyoto: Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira; ne bavuunama amaaso gaabwe. 21#Balam 6:22Naye malayika wa Mukama n'atalabikira nate Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga ye malayika wa Mukama. 22#Lub 32:30, Kuv 33:20Manowa n'agamba mukazi we nti Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda. 23Naye mukazi we n'amugamba nti Oba nga Mukama abadde ayagala okututta, teyandikkirizza ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta eri omukono gwaffe, so teyanditulaze bigambo ebyo byonna, so teyanditubuulidde mu biro bino ebigambo ebiri bwe bityo. 24#1 Sam 2:21; 3:19, Luk 1:80; 2:52, Beb 11:32Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samusooni: omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa. 25#Balam 3:10Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumusindika mu Makanedani, wakati w'e Zola ne Esutaoli.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 13: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.