YouVersion Logo
Search Icon

Ekyabalamuzi 15

15
1 # Lub 38:17 Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira. 2#Balam 14:20Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye. 3Samusooni n'abagamba nti Omulundi guno ndiba nga siriiko musango eri Abafirisuuti, bwe ndibakolera akabi. 4Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye. 5Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni. 6#Balam 14:15Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. 7Samusooni n'abagamba nti Bwe mukola bwe mutyo, sirirema kubawalanako ggwanga, ne ndyoka ndekera awo. 8N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.
9Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki. 10Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe. 11#Balam 14:4Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola. 12Ne bamugamba nti Tuserengese okukusiba, tukugabule mu mukono gw'Abafirisuuti. Samusooni n'abagamba nti Mundayirire obutangwako mmwe bennyini. 13#Balam 16:11,12Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja. 14#Balam 14:6,19; 16:9, 1 Sam 11:6Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye. 15N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'agolola omukono gwe, n'aluddira, n'alussa abasajja lukumi. 16Samusooni n'ayogera nti
Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo,
Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi.
17 # Balam 15:9 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki. 18Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n'ayogera nti Otuwadde okulokoka kuno okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole. 19Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne gumuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero. 20#Balam 13:1; 16:31N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu nnaku z'Abafirisuuti.

Currently Selected:

Ekyabalamuzi 15: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in