YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 43

43
1 # Lub 41:47 Enjala n'eba nnyingi mu nsi. 2Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'abagamba nti Mugende nate, mutugulire akamere. 3#Lub 42:20Yuda n'amugamba nti Omusajja yatulayiririra ddala ng'ayogera nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe. 4Bw'onoosindika muganda waffe awamu naffe, tunaaserengeta tulikugulira emmere: 5naye bw'otoomusindike, tetugenda kuserengeta: kubanga omusajja yatugamba nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe. 6Isiraeri n'ayogera nti Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nga mulina ow'oluganda omulala? 7Ne boogera nti Omusajja yatubuuza bwe twali ne baganda baffe bwe baali, ng'ayogera nti Kitammwe akyali mulamu? mulina ow'oluganda omulala? ne tumubuulira ng'ebigambo ebyo bwe biri: twandiyinzizza n'akatono okutegeera ng'anaagamba nti Muserengese muganda wammwe? 8#Lub 42:37Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti Sindika omulenzi awamu nange, naffe tunaagolokoka ne tugenda; tube abalamu, tuleme okufa, ffe, naawe, era n'abaana baffe abato. 9#Lub 42:37Nze naabeera omuyima we; olimuvunaana nze mu mukono gwange: bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna: 10kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogw'okubiri. 11#Lub 32:20; 37:25Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obulungi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, envumbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugavu n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi: 12#Lub 42:25,35era mutwale effeeza ebigero bibiri mu ngalo zammwe; n'effeeza eyakomezebwawo mu bumwa bw'ensawo zammwe; gitwale nate mu ngalo zammwe; mpozzi baagizza nga tebamanyiridde: 13era mutwale ne muganda wammwe, mugolokoke, muddeyo eri omusajja: 14#Lub 42:36, Nek 1:11era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja, abasumululire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa.
15Abasajja ne batwala ekirabo ekyo, ne batwala effeeza ebigero bibiri mu ngalo zaabwe, ne Benyamini; ne bagolokoka, ne baserengeta mu Misiri, ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 16#Lub 24:2; 39:4Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti Twala abasajja mu nnyumba obabaagire, oteeketeeke; kubanga abasajja banaaliira wamu nange mu ttuntu. 17Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yalagira; omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 18Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe. 19Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye ku mulyango gw'ennyumba, 20#Lub 42:3,10ne bagamba nti Ai mukama wange, mazima twaserengeta olubereberye okugula emmere: 21#Lub 42:27,35awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe. 22Era tuleese n'effeeza endala mu ngalo zaffe okugula emmere: tetumanyi bw'ali eyateeka effeeza yaffe mu nsawo zaffe. 23N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni. 24#Lub 18:4; 24:32Omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere byabwe; n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya. 25Ne bateekateeka ekirabo Yusufu ng'ajja kujja mu ttuntu: kubanga bawulidde nga banaaliira eyo emmere. 26#Lub 42:6Awo Yusufu bwe yadda eka, ne bamuleetera mu nnyumba ekirabo ekyali mu ngalo zaabwe, ne bamuvuunamira. 27#Lub 42:11,13N'ababuuza bwe baali, n'ayogera nti Kitammwe gyali omukadde gwe mwayogerako? Akyali mulamu? 28#Lub 37:7,9, Nge 14:19Ne boogera nti Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu. Ne bakutama, ne bavuunama. 29#Lub 35:17,18; 42:13N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange. 30#Lub 42:24, 2 Sam 18:33, 1 Bassek 3:26, Yer 31:20Yusufu n'ayanguwa; kubanga emmeeme ye yalumirwa muganda we: n'anoonya w'anaakaabira amaziga; n'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. 31N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'ayogera nti Mujjule emmere. 32#Lub 46:34, Kuv 8:26Ne bamusoosootolera ye yekka, nabo bokka, n'Abamisiri, abaaliiranga awamu naye, nabo bokka: kubanga Abamisiri tebayinza kuliira mmere wamu n'Abaebbulaniya; kubanga ekyo kya muzizo eri Abamisiri. 33Ne batuula mu maaso ge, omubereberye ng'obukulu bwe bwe bwali, n'omuto ng'obuto bwe bwe bwali: abasajja ne beewuunya bokka na bokka. 34#Lub 45:22N'ababegerako ebitole (ku mmere) eyali mu maaso ge: naye ekitole kya Benyamini kyasinga ebyabwe byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu naye.

Currently Selected:

Olubereberye 43: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy