YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 37

37
1Yakobo n'abeeranga mu nsi kitaawe mwe yatuulanga mu nsi ya Kanani. 2Okuzaala kwa Yakobo kuukuno. Yusufu bwe yali yaakamaze emyaka kkumi na musanvu, yali alunda ekisibo awamu ne baganda be: omulenzi n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe: Yusufu n'abuuliranga kitaabwe ebigambo byabwe ebibi. 3#2 Sam 13:18Era Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye: n'amutungira ekizibawo eky'amabala amangi. 4Baganda be ne balaba nga kitaawe yamwagala okusinga baganda be bonna; ne bamukyawa, ne batayinza kwogera naye wabula eby'okuyomba. 5Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be: ne beeyongera nate okumukyawa. 6N'abagamba nti Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose: 7#Lub 42:6; 43:26; 44:14kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange. 8Baganda be ne bamugamba nti Okufuga olitufuga ggwe? oba kutwala olitutwala ggwe? Ne beeyongera nate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye. 9N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti Laba, ndoose n'ekirooto ekirala; era, laba enjuba n'omwezi n'emmunnyeenye ekkumi n'emu ne binvuunamira. 10N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo okujja tulijja okukuvuunamira? 11Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'ajjukira ebyo bye yayogera. 12Baganda be ne bagenda okulunda ekisibo kya kitaabwe mu Sekemu. 13Isiraeri n'agamba Yusufu nti Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? jjangu nkutume gye bali. N'amugamba nti Nze nzuuno. 14N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu. 15Omusajja n'amulaba, era, laba yali akyamidde mu nsiko: omusajja n'amubuuza nti Onoonya ki? 16N'ayogera nti Nnoonya baganda bange: mbuulira, nkwegayiridde, gye balundidde ekisibo. 17Omusajja n'ayogera nti Baagenda: kubanga nabawulira nga boogera nti Tugende e Dosani. Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani. 18Ne bamulengera ng'akyali wala, ne bamwekobaana nga tannabasemberera okumutta. 19Ne bagambagana nti Laba, sekalootera wuuyo ajja. 20Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti Ensolo enkambwe ye yamulya: ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba. 21Lewubeeni n'awulira ekyo, n'amuwonya mu mukono gwabwe; n'ayogera nti Tuleme okumuttira ddala. 22Lewubeeni n'abagamba nti Temuyiwa musaayi; mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumussaako mukono: alyoke amuwonye mu mukono gwabwe, okumuddiza kitaawe. 23Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bambula Yusufu ekizibawo kye, ekizibawo eky'amabala amangi kye yali ayambadde; 24ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya: n'obunnya bwali bukalu nga temuli mazzi. 25#Lub 37:28,36; 39:1, Is 21:13Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri. 26Yuda n'agamba baganda be nti Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? 27#Lub 29:14, 1 Sam 18:17Kale tumuguze Abaisimaeri, so omukono gwaffe guleme okumubaako; kubanga ye muganda waffe, gwe mubiri gwaffe. Baganda be ne bamuwulira. 28#Lub 37:36; 45:4,5, Zab 105:17, Bik 7:9Abamidiyaani, ab'obuguzi, ne bayitawo; ne bawalula Yusufu ne bamuggya mu bunnya, ne baguza Abaisimaeri Yusufu ebitundu by'effeeza amakumi abiri. Ne batwala Yusufu mu Misiri. 29#Lub 44:13, Kubal 14:6, 2 Sam 1:11, Yob 1:20Lewubeeni n'addayo eri obunnya; era, laba, Yusufu teyali mu bunnya; n'ayuzaayuza engoye ze. 30#Lub 42:13,36, Yer 31:15N'addayo eri baganda be, n'ayogera nti Omwana taliiyo; nange ndigenda wa? 31Ne baddira ekizibawo kya Yusufu, ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekizibawo mu musaayi; 32ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo. 33#Lub 44:28N'akitegeera, n'ayogera nti Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa. 34#Lub 37:29Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we ennaku nnyingi. 35#2 Sam 12:17Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga. 36#Lub 37:28; 39:1Abamidiyaani ne bamuguza Potifali mu Misiri, ye mwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa.

Currently Selected:

Olubereberye 37: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in