N'abagamba nti Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose: kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange.