1
Okuva 6:6
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene
Compare
Explore Okuva 6:6
2
Okuva 6:7
era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri.
Explore Okuva 6:7
3
Okuva 6:8-9
Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa. Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.
Explore Okuva 6:8-9
4
Okuva 6:1
Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye.
Explore Okuva 6:1