Okuva 25
25
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Kuv 35:21,29, 1 Byom 29:9, 2 Kol 9:7Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange. 3Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo; 4n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 5n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 6amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 7#Kuv 28:4,6-8amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba. 8#Leev 26:12, 2 Kol 6:16, Beb 9:1, Kub 21:3Era bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe. 9Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
10 #
Beb 9:4
Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 11Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola. 12Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri. 13Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu. 14Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo. 15#1 Bassek 8:8Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu. 16#Kuv 16:34; 31:18; 40:20, Kubal 17:10, Ma 10:2; 31:26, 1 Bassek 8:9Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa. 17#Beb 9:5Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo. 18Era olikola bakerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira. 19Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri. 20#1 Bassek 8:7, 1 Byom 28:18Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira. 21Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa. 22#Kuv 30:6,36, Leev 16:2, Kubal 7:89; 17:4Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakulagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23 #
Beb 9:2
Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 24Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola. 25Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 26Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 27Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza. 28Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo. 29Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola. 30#Leev 24:5,6, Beb 9:2Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
31 #
Beb 9:2, Kub 1:12 Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo: 32n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubirizi lwakyo olw'okubiri: 33ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo; 34ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo: 35n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. 36Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu. 37#Leev 24:3,4, Kubal 8:2, Kub 1:12Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo. 38Ne makaasi waakyo, ne ssowani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi. 39Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna. 40#Kubal 8:4, Bik 7:44, Beb 8:5Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.
Currently Selected:
Okuva 25: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.