YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 20

20
1 # Ma 5:22, Yok 1:17 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti 2#Ma 5:6-21, Kuv 13:3, Leev 26:13, Zab 81:10Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
3 # 2 Bassek 17:35, Yer 25:6 Tobanga na bakatonda balala we ndi.
4 # Leev 26:1, Ma 4:16-18; 27:15 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: 5#Kuv 23:33; 34:7,14, Kubal 14:18, Ma 4:24, Yos 24:19, Zab 109:14, Nak 1:2tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; 6#Ma 7:9, Yer 32:18era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange.
7 # Leev 19:12 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.
8 # Leev 19:3,30 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. 9#Kuv 34:21; 35:2, Luk 13:14Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna: 10#Lub 2:2,3, Kuv 16:26, Nek 13:16-19naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: 11#Ma 5:15, Beb 4:4kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.
12 # Leev 19:3, Mat 15:4; 19:19, Bef 6:2,3 # Mat 19:18,19, Bar 13:9 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.
13 # Ma 5:17, Mat 5:21; 19:18, Yak 2:11 Tottanga.
14 # Leev 18:20, Ma 5:18, Mat 5:27; 19:18, Bar 13:9, Yak 2:11 Toyendanga.
15 # Leev 19:11, Ma 5:19, Bar 13:9 Tobbanga.
16 # Ma 5:20, Mat 19:18 Towaayirizanga muntu munno.
17 # Ma 5:21, Nge 6:25, Mi 2:2, Bar 7:7; 13:9, Bef 5:3, Kuv 19:16,18 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.
18 # Beb 12:18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala. 19#Ma 5:27, Beb 12:19Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa. 20#Ma 4:10, Nge 3:7Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona. 21Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali.
22Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. 23Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga. 24#Lub 12:2, Ma 12:5,11, 1 Bassek 8:29Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa. 25#Ma 27:5,6, Yos 8:31Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa. 26So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.

Currently Selected:

Okuva 20: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in