Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa