Okuva 19
19
1Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi. 2#Kubal 33:15Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi. 3#Bik 7:38Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri 4#Ma 29:2; 32:11, Is 63:9nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi. 5#Ma 7:6; 10:14; 26:18, Zab 24:1; 50:12; 135:4, 1 Kol 10:26, Tit 2:14Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: 6#Leev 20:26, Ma 7:6; 26:19, 1 Peet 2:9, Kub 5:10; 20:6nammwe mulimbeerera okwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu. Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri. 7Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. 8#Kuv 24:3,7, Ma 5:27; 26:17Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama. 9#Ma 4:11,12, Zab 18:11; 97:2, Mat 17:5Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu. 10#Leev 11:44,45; 15:5Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe, 11beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. 12#Beb 12:20Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa: 13omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, oba muntu, taliba mulamu: eŋŋombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi. 14Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe. 15#1 Sam 21:4,5, 1 Kol 7:5N'agamba abantu nti Mweteekereteekere olunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi. 16#Beb 12:19,21Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana. 17#Ma 4:10Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi. 18#Ma 4:11, Zab 68:7,8; 144:5, Yer 4:24, Beb 12:18,26, Kub 15:8Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19#Nek 9:13, Zab 81:7Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi. 20Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi: Musa n'alinnya. 21#1 Sam 6:19Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo. 22#Leev 10:3, 2 Sam 6:7Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo. 23Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze. 24Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo. 25Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.
Currently Selected:
Okuva 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.