Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?