Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa: kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala. Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki? N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'empisa, n'abakemera awo