YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 13

13
1Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 2#Kuv 13:12-15; 22:29,30; 34:19, Leev 27:26, Kubal 3:13; 8:16,17; 18:15, Ma 15:19, Luk 2:23Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange.
3 # Kuv 3:19; 12:15,42; 13:9,14,16, Ma 16:3 Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa. 4#Kuv 23:15; 34:18, Ma 16:1Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu. 5#Kuv 3:8; 6:8; 33:1,2Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno. 6#Kuv 12:15,16Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, era ku lunaku olw'omusanvu; wanaabanga embaga eri Mukama. 7Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna. 8#Kuv 12:26,27Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri. 9#Kuv 12:14, Ma 6:8; 11:18Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri. 10Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka.
11Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa, 12#Kuv 13:2onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama. 13#Kuv 34:20, Kubal 18:15Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga. 14#Kuv 12:26,27Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? Onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: 15awo olwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula. 16#Kuv 13:9,14N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri.
17 # Kuv 14:10-12, Kubal 14:1-4 Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri: 18#Kuv 14:2, Kubal 33:6,8,10,11naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri. 19#Lub 50:25Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe. 20#Kubal 33:6Ne bava mu Sukkosi okutambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu. 21#Kubal 14:14, Ma 1:33, Nek 9:12,19, Zab 78:14, 1 Kol 10:1Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro; 22empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu.

Currently Selected:

Okuva 13: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in