1
Okuva 13:21-22
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro; empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu.
Compare
Explore Okuva 13:21-22
2
Okuva 13:17
Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri
Explore Okuva 13:17
3
Okuva 13:18
naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
Explore Okuva 13:18