YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 12

12
1Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti 2#Kuv 13:4, Ma 16:1Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. 3Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba: 4era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga. 5#Leev 22:19, Ma 17:1, Mal 1:8,14, 1 Peet 1:19Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: 6#Leev 23:5, Kubal 9:3; 28:16, Yos 5:10muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkuŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo. 7Era balitwala ku musaayi, baguteeke ku mifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira. 8#Kubal 9:11, Ma 16:3 Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa. 9Temugiryangako mbisi newakubadde enfumbe n'amazzi wabula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. 10#Kuv 34:25, Ma 16:4Nammwe temugirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro. 11#Kuv 12:27Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. 12#Kuv 6:2; 11:4,5, Kubal 33:4, Is 42:8Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama. 13#Beb 11:28Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri. 14#Kuv 13:10, 2 Bassek 23:21Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo. 15#Kuv 13:3,6,7; 23:15; 34:18, Leev 23:6, Kubal 28:17, Ma 16:3,8, 1 Kol 5:7,8Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri. 16#Leev 23:7,8, Kubal 28:18,25Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme okukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egyo gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe. 17#Kuv 13:3Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo. 18#Leev 23:5,6, Kubal 28:16,17Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulukuswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo. 19#Kuv 12:15,48,49Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa. 20Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byammwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa.
21 # Kuv 12:3 Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako. 22#Kuv 12:7, Kubal 19:18, Beb 9:19Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya. 23#Kuv 12:12,13, Ez 9:6, Beb 11:28, Kub 7:3; 9:4Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba. 24Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo. 25Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuno. 26#Kuv 13:8,14, Ma 6:20, Zab 78:6Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? 27#Kuv 4:31; 12:11mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bakutama ne basinza. 28Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
29 # Kuv 11:4,5, Kubal 33:4, Zab 78:51; 105:36 Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo. 30#Kuv 11:6Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. 31#Kuv 10:9-11,24N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera. 32Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange. 33#Kuv 11:1,8, Zab 105:38N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna. 34Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. 35#Kuv 3:22; 11:2, Lub 15:14Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye: 36#Kuv 3:21; 11:3, Zab 105:37Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri.
37 # Lub 47:11, Kuv 38:26, Kubal 33:3,5 Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana. 38#Leev 24:10, Kubal 11:4Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo. 39#Kuv 6:1; 11:1Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna. 40#Lub 15:13, Bik 7:6, Bag 3:17N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina mu asatu. 41Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. 42Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukama ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna.
43Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako: 44#Lub 17:12,13naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako. 45#Leev 22:10Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako. 46#Kubal 9:12, Yok 19:33,36Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo. 47Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata. 48#Kuv 12:19, Kubal 9:14Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako. 49#Leev 24:22, Kubal 15:15,16,29Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe. 50Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. 51#Bik 13:17Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe.

Currently Selected:

Okuva 12: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in