Abaefeso 3
3
1 #
Baf 1:7,13, Bak 1:24 Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, 2#Bak 1:25oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe; 3#Bef 1:9,10, Bak 1:26bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono, 4ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo; 5ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo; 6#Bef 2:13,18,19ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri, 7#Bak 1:25,29gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli. 8#1 Kol 15:9,10, Bef 1:7, Bag 1:16Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; 9#Bar 16:25, Bak 1:26,27n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna; 10#1 Peet 1:12, Bar 11:33, Bak 1:26kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi, 11#Bef 1:11ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe: 12#Yok 14:6, Beb 4:16, Bar 5:2mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye. 13#Bak 1:24Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
14 #
1 Kol 14:20, Beb 13:9 Kyenva nfukaamirira Kitaffe, 15#Bef 1:22; 5:23, Bak 1:18buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya, 16#Bef 1:7; 6:10, Bak 1:11abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda: 17#Yok 14:23, Bak 1:23; 2:7Kristo atuulenga mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala, 18#Bak 2:2mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, 19#Bak 2:3n'okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.
20 #
Bak 1:29
Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, 21aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.
Currently Selected:
Abaefeso 3: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.