YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 1

1
1Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2 # Yob 7:16, Zab 39:5; 144:4, Bar 8:20 Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu. 3#Mub 3:9Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba? 4#Zab 119:90Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala gijja; ensi n'ebeerera awo ennaku zonna. 5#Zab 19:4-6Era n'enjuba evaayo, enjuba n'egwa, n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva. 6#Mub 11:5, Yok 3:8Empewo egenda eri obukiika obwa ddyo, n'ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo. 7Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate. 8#Nge 27:20Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira. 9#Mub 3:15Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba. 10Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka. 11#Mub 2:16; 9:5Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvannyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi. 13#Lub 3:19, Mub 3:10Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'abantu okubaluma. 14#Mub 2:11; 4:4Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 15#Mub 7:13Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n'ekyo ekitatuuka tekibalika. 16#1 Bassek 3:12, Mub 2:9Nateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya. 17#Mub 2:12; 7:25Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo. 18Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.

Currently Selected:

Omubuulizi 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy