YouVersion Logo
Search Icon

Engero 31

31
1 # Nge 30:1 Ebigambo bya kabaka Lemweri; ebyalagulwa nnyina bye yamuyigiriza.
2Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange?
Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange?
3 # Ma 17:17, 1 Bassek 11:1,4, Nek 13:26 Towanga bakazi amaanyi go,
Newakubadde amakubo go eri ekyo ekizikiriza bakabaka.
4 # 1 Bassek 20:16, Mub 10:17, Kos 4:11 Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge;
So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa?
5 # Is 5:22,23 Balemenga okunywa ne beerabira amateeka,
Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa.
6 # Zab 104:15 Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa,
N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:
7Anywenga yeerabirenga obwavu bwe,
Alemenga okujjukira nate ennaku ze.
8 # Yob 29:12,15,16, Is 1:17 Yasamanga akamwa ko olwa kasiru,
Okuwoza ensonga y'abo bonna abalekebwa nga tebalina bannaabwe.
9 # Leev 19:15, Ma 1:16, Yer 22:16, Zek 7:9,10, Yok 7:24 Yasamanga akamwa ko osalenga emisango egy'ensonga,
Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga.
10 # Nge 12:4 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.
11Omutima gwa bba gumwesiga,
So taabulwenga magoba.
12Amukola bulungi so si bubi
Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba,
N'akola emirimu n'engalo ze n'essanyu.
14Ali ng'amaato ag'abasuubuzi;
Emmere ye agiggya wala.
15 # Nge 20:13, Mat 24:45, Luk 12:42 Era agolokoka nga bukyali bwa kiro,
N'awa ab'omu nnyumba ye ebyokulya,
N'agabira abawala be emirimu gyabwe.
16Alowooza ennimiro n'agigula:
Asimba olusuku olw'emizabbibu n'ebibala eby'emikono gye.
17Yeesiba n'amaanyi,
N'anyweza emikono gye.
18Alaba ng'obuguzi bwe bulimu ettunzi:
Ettabaaza ye tezikira kiro.
19Ateeka engalo ze ku muggo ogubaako ppamba,
Emikono gye ne gikwata akati akalanga.
20Ayanjululiza omwavu omukono gwe:
Weewaawo, agololera emikono gye oyo eyeetaaga.
21 # 2 Sam 1:24 Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye;
Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu.
22Yeekolera amagodooli;
Ebyambalo bye bafuta nnungi n'olugoye olw'effulungu.
23 # Luus 4:1,2 Bba amanyibwa mu miryango,
Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.
24Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda;
N'awa omusuubuzi enkoba.
25Amaanyi n'okutiibwa bye byambalo bye;
Era asekerera ebiro ebigenda okujja.
26Ayasama akamwa ke n'amagezi;
N'etteeka ery'ekisa liba ku lulimi lwe.
27Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye,
So talya mmere ya kugayaala.
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa;
Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti
29Abawala bangi abaakola eby'okwegendereza,
Naye ggwe obasinga bonna.
30 # Nge 11:16 Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa:
Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.
31Mumuwenga ku bibala eby'emikono gye;
N'emirimu gye gimutenderezenga mu miryango.

Currently Selected:

Engero 31: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy