YouVersion Logo
Search Icon

Omubuulizi 2

2
1 # Luk 12:19 Nayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu: era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu. 2#Nge 14:13Nayogera ku nseko nti Ziraluse: ne ku binyumu nti Bikola ki? 3Nanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, era bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe. 4#1 Bassek 7:1-12, Lu 8:11Neekolera emirimu eminene, neezimbira ennyumba; neesimbira ensuku ez'emizabbibu; 5#Lu 4:16; 5:1neekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna: 6neesimira ebidiba eby'amazzi, okugafukiriza ekibira emiti mwe gyasimbwa: 7#Lub 14:14nagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange: era nalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okukira abo bonna abansooka mu Yerusaalemi: 8#1 Bassek 4:21; 9:28; 10:15; 11:3, 2 Byom 35:25era neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi nnyo. 9#1 Byom 29:25, Mub 1:16Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi: era amagezi gange ne gabeera nange. 10#Mub 3:22Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma: saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna. 11#Mub 1:3,14Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola: era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.
12 # Mub 1:9,17 Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru: kubanga omuntu ayinza ki addirira kabaka? Ayinza ekyo ekyakolebwa edda. 13Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi ng'omusana bwe gusinga ekizikiza. 14#Nge 17:24, Mub 9:2Omugezigezi amaaso ge gaba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza: era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu kibatuukako. 15Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi? Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu. 16#Mub 1:11Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru tajjukirwa mirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru! 17Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama: kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
18 # Zab 39:6; 49:10 Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra. 19#1 Bassek 12:13,14Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru? naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, ere kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu. 20Kyennava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba. 21Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene. 22#Mub 1:3Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategana wansi w'enjuba? 23#Yob 5:7, Mub 1:13Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.
24 # Mub 5:18,19; 9:7 Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda. 25Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze? 26#Yob 27:16,17; 32:8Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu: naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Currently Selected:

Omubuulizi 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy