2 Abakkolinso 7
7
1Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
2 #
2 Kol 12:17, Bik 20:33 Mutukkirize: tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muntu yenna. 3#2 Kol 6:11-13Soogedde kubanenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe. 4Njogera n'obuvumu bungi eri mmwe, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe: njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna.
5 #
Bik 20:1,2 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya. 6#2 Kol 1:3,4; 2:13, Zab 113:6; 138:6, Is 66:2Naye asanyusa abawombeefu, ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito; 7so si lwa kujja kwe kwokka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusibwa mu mmwe, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka. 8#2 Kol 2:4Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera. 9Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe. 10#Mat 27:3-5, Beb 12:17Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa. 11Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo. 12Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi, newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda. 13Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna. 14Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima. 15#2 Kol 2:9N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana. 16Nsanyuse kubanga mu byonna nguma omwoyo mu mmwe.
Currently Selected:
2 Abakkolinso 7: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.