1
1 Abasessaloniika 5:16-18
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Musanyukenga ennaku zonna; musabenga obutayosa; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
Compare
Explore 1 Abasessaloniika 5:16-18
2
1 Abasessaloniika 5:23-24
Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
Explore 1 Abasessaloniika 5:23-24
3
1 Abasessaloniika 5:15
Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
Explore 1 Abasessaloniika 5:15
4
1 Abasessaloniika 5:11
Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
Explore 1 Abasessaloniika 5:11
5
1 Abasessaloniika 5:14
Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna.
Explore 1 Abasessaloniika 5:14
6
1 Abasessaloniika 5:9
Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo
Explore 1 Abasessaloniika 5:9
7
1 Abasessaloniika 5:5
kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza
Explore 1 Abasessaloniika 5:5
Home
Bible
Plans
Videos