1 Samwiri 29
29
1 #
1 Sam 4:1; 28:1 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki: Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri. 2#Yos 13:3, 1 Sam 28:1,2Awo abaami b'Abafirisuuti ne bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi: Dawudi n'abasajja be ne bayitira wamu ne Akisi nga basemba. 3#1 Sam 27:7,12Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano? Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero? 4#1 Sam 14:21; 27:6; 30:1Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo: kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano? 5#1 Sam 18:7; 21:11Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti
Sawulo asse enkumi ze,
Ne Dawudi obukumi bwe?
6 #
1 Sam 20:3
Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala. 7Kale nno ddayo ogende mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti. 8Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki? oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka? 9#2 Sam 14:17,20; 19:27Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo. 10#1 Byom 12:19,22Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende. 11Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, okugenda enkya, okuddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri.
Currently Selected:
1 Samwiri 29: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.