1 Samwiri 28
28
1 #
1 Sam 29:1
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe entalo okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti Tegeerera ddala ng'olitabaala nange mu ggye, ggwe n'abasajja bo. 2Dawudi n'agamba Akisi nti Kyoliva otegeera omuddu wo by'alikola. Akisi n'agamba Dawudi nti Kyendiva nkufuula omukuumi w'omutwe gwange ennaku zonna.
3 #
Leev 19:31, Ma 18:10,11, 1 Sam 1:19; 25:1, Is 8:19 Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu. 4Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu: awo Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa. 5Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo. 6#Kuv 28:30, Balam 12:6, Ma 18:18, 1 Sam 14:37, Kung 2:9, Mi 3:4,6,7Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi. 7#1 Byom 10:13,14Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze. Abaddu be ne bamugamba nti Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli. 8#Ma 18:10, 1 Bassek 14:2; 20:38; 22:30, 2 Byom 35:22Sawulo ne yeekyusa n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda, ye n'abasajja babiri naye, be bajja eri omukazi ekiro: n'ayogera nti Ndagula, nkwegayiridde, n'omuzimu, onninnyisize buli gwe nnaakugambako erinnya. 9#1 Sam 28:3, Zab 38:12Awo omukazi n'amugamba nti Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu, n'abafumu: kale kiki ekikuteeza obulamu bwange ekyambika okunzisa. 10Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, tekulikubaako kibonerezo kyonna olw'ekigambo kino. 11Awo omukazi n'ayogera nti Ani gwe mba nkulinnyisiza? N'ayogera nti Nninnyisiza Samwiri. 12Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene: omukazi n'agamba Sawulo nti Onnimbidde ki? Kubanga ggwe oli Sawulo. 13Kabaka n'amugamba nti Totya: kubanga olaba ki? Omukazi n'agamba Sawulo nti Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka. 14#1 Sam 15:27N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. 15#1 Sam 16:14; 18:12; 28:6Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola. 16#Is 63:10Awo Samwiri n'ayogera nti Obuuliza ki nze nno, Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo? 17#1 Sam 15:28Era Mukama yeekoledde omulimu, nga bwe yayogerera mu nze: era Mukama ayuzizza obwakabaka ng'abuggya mu mukono gwo era abuwadde muliraanwa wo, Dawudi. 18#1 Sam 15:9Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kino leero. 19#1 Sam 31:1,2,6, 2 Sam 12:23Era nate Mukama anaagabula ne Isiraeri wamu naawe mu mukono gw'Abafirisuuti: era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange: Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti. 20Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri: ne mutamusigalamu maanyi; kubanga yali talidde ku mmere yonna okuzibya obudde n'okukeesa. 21#Balam 12:3Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye. 22Kale nno, nkwegayiridde, naawe wulira eddoboozi ly'omuzaana wo, era nteeke akamere mu maaso go; olye olyoke obe n'amaanyi bw'onoogenda. 23Naye n'agaana n'ayogera nti Siirye. Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda. 24#Lub 18:6-8, Luk 15:23Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa: 25n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne bagolokoka ne bagenda ekiro ekyo.
Currently Selected:
1 Samwiri 28: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.