YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 30

30
1 # 1 Sam 27:6,8; 29:4,11 Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olw'okusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiika obwa ddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okutta Zikulagi era nga bakyokezza omuliro; 2era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu: tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda. 3Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze. 4Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba. 5#1 Sam 25:42,43, 2 Sam 2:2Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze. 6#Kuv 17:4, Kubal 14:10, 1 Sam 23:16, Yok 8:59Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be: naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.
7Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti Nkwegayiridde, leeta eno ekkanzu. Abiyasaali n'aleetayo ekkanzu eri Dawudi. 8#1 Sam 23:2,4Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako? N'amuddamu nti Goberera: kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna. 9#1 Sam 23:13Awo Dawudi n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne bajja ku kagga Besoli abaasigala gye baatuula. 10Naye Dawudi n'agoberera, ye n'abasajja ebikumi bina: kubanga ebikumi bibiri baasigala, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kusomoka kagga Besoli: 11ne basanga Omumisiri mu nsiko ne bamuleetera Dawudi ne bamuwa omugaati n'alya; ne bamunywesa amazzi: 12#Balam 15:19ne bamuwa ekitundu ky'ekitole eky'ettiini n'ebirimba bibiri eby'ezabbibu enkalu; awo bwe yalya omwoyo gwe ne gukomawo: kubanga yali ng'amaze ennaku ssatu emisana n'ekiro nga talya mugaati so nga tanywa na mazzi. 13Awo Dawudi n'amugamba nti Ggwe oli musajja w'ani? era ova wa? N'ayogera nti Nze ndi mulenzi w'e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula kubanga ennaku ziri ssatu kasookedde ndwala. 14#1 Sam 25:3; 27:10; 30:1, Ez 25:16, Zef 2:5Twakwekweta obukiika obwa ddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiika obwa ddyo obwa Kalebu; ne twokya Zikulagi omuliro. 15Dawudi n'amugamba nti Ononserengesa eri ekibiina kino? N'ayogera nti Ndayirira Katonda nga tolinzita so tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, nange naakuserengesa eri ekibiina kino. 16Awo bwe yamuserengesa, laba, nga beesuddesudde ku ttaka lyonna, nga balya nga banywa, nga bafumba embaga, olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda. 17Awo Dawudi n'abatta okutanula ekiro okutuusa olw'enkya lwe lwawungeera: ne watawonako n'omu, wabula abalenzi ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18#1 Sam 30:8Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze: Dawudi n'awonya bakazi be bombi. 19Ne batabulwa kintu, oba kitono oba kinene, newakubadde abaana ab'obulenzi newakubadde ab'obuwala newakubadde omunyago newakubadde ekintu kyonna kye baali beenyagidde: Dawudi n'akomyawo byonna. 20Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti Guno gwe munyago gwa Dawudi. 21#1 Sam 30:10Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kugoberera Dawudi, era be baatuuza ku kagga Besoli: ne bafuluma okusisinkana ne Dawudi n'okusisinkana n'abantu abaali naye: awo Dawudi bwe yasemberera abantu, n'abalamusa. 22#1 Sam 25:17Awo abantu bonna ababi n'abantu ba Beriali ku abo abaagenda ne Dawudi ne baddamu ne boogera nti Kubanga tebaagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tubasuuzizza, wabula buli muntu mukazi we n'abaana be, babatwale bagende. 23Awo Dawudi n'ayogera nti Baganda bange, si bwe mugenda kukola ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala. 24#Kubal 31:27, Yos 22:8Era ani anaabawulira mu kigambo ekyo? kuba omugabo gw'oyo aserengeta mu lutalo nga bwe guli, bwe gutyo bwe gunaabeera omugabo gw'oyo asigala ku bintu: banaagabana okwenkanankana. 25Awo olwatuuka okuva ku lunaku olwo n'alifuula etteeka n'empisa eri Isiraeri ne leero.
26 # Balam 5:31, 1 Sam 25:27 Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'ayogera nti Laba ekirabo kyammwe eky'oku munyago gw'abalabe ba Mukama; 27abo abaali mu Beseri, n'abo abaali mu Lamosi eky'obukiika obwa ddyo, n'abo abaali mu Yattiri; 28#Ma 2:36n'abo abaali mu Aloweri, n'abo abaali mu Sifumosi, n'abo abaali mu Esutemoa; 29#1 Sam 27:10n'abo abaali mu Lakali, n'abo abaali mu bibuga eby'Abayerameeri, n'abo abaali mu bibuga eby'Abakeeni; 30#Kubal 21:3, Balam 1:17n'abo abaali mu Koluma, n'abo abaali mu Kolasani, n'abo abaali mu Asaki; 31#Yos 14:13-15, Balam 1:10, 2 Sam 2:1-4n'abo abaali mu Kebbulooni, n'ebifo byonna Dawudi yennyini n'abasajja be gye baamanyiiranga okubeera.

Currently Selected:

1 Samwiri 30: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in