YouVersion Logo
Search Icon

1 Samwiri 19

19
1Awo Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we n'abaddu be bonna batte Dawudi. Naye Yonasaani mutabani wa Sawulo yamusanyukira nnyo Dawudi. 2#1 Sam 18:1Yonasaani n'abuulira Dawudi ng'ayogera nti Sawulo kitange ayagala okukutta: kale nno kaakano, nkwegayiridde, weekuume enkya obeere mu kifo eky'ekyama weekise: 3nange naafuluma ne nnyimirira ku mabbali ga kitange mu nnimiro mw'oli, era naateesa ne kitange ebigambo byo; era bwe ndiraba ekigambo kyonna, ndikubuulira. 4#1 Sam 24:11Awo Yonasaani n'ayogera ne Sawulo kitaawe ng'atenda Dawudi obulungi n'amugamba nti Kabaka tayonoonanga muddu we Dawudi; kubanga takwonoonanga ggwe, era kubanga ebikolwa bye byabanga birungi nnyo gy'oli; 5#Balam 12:3, 1 Sam 11:13; 17:49,50; 28:21, Mat 27:4kubanga yateeka obulamu bwe mu mukono gwe n'akuba Omufirisuuti, Mukama n'akolera Isiraeri yenna obulokozi obukulu: wabulaba n'osanyuka: kale kiki ekikwagaza okwonoona omusaayi ogutaliiko musango, okutta Dawudi awatali nsonga? 6#Luus 3:13Sawulo n'awulira eddoboozi lya Yonasaani: Sawulo n'alayira nti Mukama nga bwali omulamu, talittibwa. 7#1 Sam 16:21; 18:2Yonasaani n'ayita Dawudi, Yonasaani n'amutegeeza ebigambo ebyo byonna. Yonasaani n'aleeta Dawudi eri Sawulo, n'abanga mu maaso ge ng'olubereberye.
8Ne waba entalo nate: Dawudi n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti, n'abatta olutta olunene; ne badduka mu maaso ge. 9#1 Sam 16:14,16Awo omuzimu omubi ogwava eri Mukama gwali ku Sawulo, ng'atudde mu nnyumba ye ng'akutte effumu lye mu ngalo ze; ne Dawudi ng'akuba ennanga n'engalo ze. 10#1 Sam 18:11; 20:33Awo Sawulo n'agezaako okufumita Dawudi n'okumukwasa n'ekisenge n'effumu; naye ne yeemulula mu maaso ga Sawulo, n'akuba effumu mu kisenge: Dawudi n'adduka n'awona ekiro ekyo. 11Awo Sawulo n'atuma ababaka mu nnyumba ya Dawudi, okumukuuma, bamutte enkya: Mikali mukazi wa Dawudi n'amubuulira ng'ayogera nti Bw'otoowonye bulamu bwo ekiro kino, onottibwa enkya. 12#Yos 2:15, Bik 9:24,25, 2 Kol 11:33Awo Mikali n'assiza Dawudi mu ddirisa: n'agenda n'adduka n'awona. 13#Lub 31:19Mikali n'addira terafi n'amuteeka mu kitanda, n'ateeka ekigugu eky'ebyoya by'embuzi emutwetwe, n'akibikkako embugo. 14Awo Sawulo bwe yatuma ababaka okukwata Dawudi, n'ayogera nti Alwadde. 15Sawulo n'atuma ababaka okulaba Dawudi ng'ayogera nti Mumundeetere mu kitanda ndyoke mmutte. 16Awo ababaka bwe baayingira, laba, terafi ng'ali mu kitanda, ekigugu eky'ebyoya by'embuzi nga kiri emutwetwe. 17Sawulo n'agamba Mikali nti Onnimbidde ki bw'otyo, n'ota omulabe wange agende n'okuwona awonye? Mikali n'addamu Sawulo nti Yaŋŋambye nti Ka ŋŋende; nandikuttidde ki?
18 # 1 Sam 1:19 Awo Dawudi n'adduka n'awona n'ajja eri Samwiri e Laama, n'amubuulira byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda ne batuula e Nayosi. 19Ne babuulira Sawulo nti Laba, Dawudi ali e Nayosi mu Laama. 20#Kubal 11:25, 1 Sam 10:10, Yo 2:28Sawulo n'atuma ababaka okukwata Dawudi: awo bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga balagula ne Samwiri ng'ayimiridde nga gwe mutwe gwabwe, awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, ne balagula nabo. 21Awo bwe baamubuulira Sawulo, n'atuma ababaka abalala, era nabo ne balagula. Awo Sawulo n'atuma ababaka nate omulundi ogw'okusatu, era nabo ne balagula. 22Awo naye n'agenda e Laama, n'ajja awali oluzzi olunene oluli e Seku: n'abuuza n'ayogera nti Bali ludda wa Samwiri ne Dawudi? Ne waba eyayogera nti Laba, bali e Nayosi mu Laama. 23#1 Sam 10:5,6,10-12, Mi 1:8N'agendayo e Nayosi mu Laama: omwoyo gwa Katonda ne gujja ku ye era, ne yeeyongerayo n'alagula okutuusa lwe yajja e Nayosi mu Laama. 24Era naye ne yeeyambulamu engoye ze, naye n'alagulira mu maaso ga Samwiri, n'agalamira nga taliiko ky'ayambadde n'azibya obudde obwo n'akeesa obudde. Kyebava boogera nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?

Currently Selected:

1 Samwiri 19: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in